Bobi Wine aduukiridde abaana babawagizi be ababuzibwawo, abakwatibwa nabo abattibwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; “Ng’abaana beteekerateekera okuddayo ku masomero, ekitundu ku lunaku lweggulo twakimazeeko n’abaana wamu n’abazadde ba banaffe ababuzibwawo, abalala abakyali mu nkomyo wamu n’abo abattibwa emyaka 3 egiyise.
Abaana ba banaffe abattibwa okuli; Yasin Kawuma, Ritah Nabukenya, Dan Kyeyune, n’abalala. Abo ababanaffe ababuzibwawo nga tebanalabika okuli; John Damulira, Kibalama Johnbosco, Moses Mbabazi Kawenja n’abalala n’abaabo abakyali mu makomera okuli; Machete Yasin, Olivia Lutaaya, Kassim Migadde n’abalala bangi.
Neebazizza abazadde awamu ne Bajajja olw’omulimu omulungi gwebakoze okulabirira abaana bano mu biseera bino ebizibu. Abaana bano babuuza ebibuuzo bingi wabula kizibu okubannyonyola. Nakubirizza abaana bano okuddayo ku ssomero era basome nnyo okulaba nti bazadde baabwe babesiimisa, era n’okwongera ettoffaali ku ggwanga lyabwe. Twabawaddeyo ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa mu masomero, era twasabidde wamu. Neebaza abantu bonna abagenda mu maaso nokuwangira abafamire zino. Kyonna kyetusobola tukikole, kino kijja kuggwa.”
Share.

Leave A Reply

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro