Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 260 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Betty Kamya azzizzaayo omuliro eri Nambooze ku kugaziya ekibuga

March 23, 2018 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala Betty Olive Namisango Kamya azzizzaayo omuliro eri Omubaka mu Palamenti owa Munisipaali y'e Mukono Betty Nambooze ku nsonga z'okugaziya ekibuga nti bw'abanga ayogera asookenga kebuuza afune amawulire amatuufu naye bwekitaba ekyo agya kuswalira bwereere.

Kino wekijjidde nga Nambooze gyebuvuddeko yavuddeyo n'awakanya eky'okugaziya ekibuga nga bwekiri mu nteekateeka y'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera eggwanga ki National Planning Authority wamu ne Bank y'esi yonna nti kigendererwamu kunyaga ttaka lya bantu . 

Betty Kamya okwogera bino asinzidde ku yafeesi z'ekitongole kya Uganda National Planning Authority mu Kampala n'ategeeza nti Nambooze agwanidde okukitegeera nti enteekateeka y'okugaziya ekibuga ssi yiye Kamya ng'omuntu wabula kyayisibwa Lukiiko lwa ggwanga.

Kamya agongeddeko nti okugaziya ekibuga kigendereddwamu kukendeeza mugotteko gwa kibuga era n'akakasa nti zu Munisipality zaakukolera wamu n'ekibuga enkulaakulana esoboe okutinta mu ggwanga.