Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 191 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Besigye yeerayiridde obutadda mu kkooti e Nakawa

January 25, 2017 · Mubiru Ali

Eyakwatira FDC bendera mu kuvuganya ku ntebe y’eggwanga mu kalulu akaggwa aka 2016, Col. Dr. Kizza Besigye yeerayiridde obutadda mu kkooti e Nakawa ku misango gy’okulya mu nsi ye olukwe olwokuba nti Gavumenti eremeddwa okuleeta obujulizi okuva mu Muzigo wa 2016 webaamukwatira .ย 

Besigye ategeezezza omulamuzi ali mu musango guno, Noah Sajjabi nti leero lwakomye okulabika mu kkooti eno okujjako nga banaamukomyawo nga omusibe oba oli awo bwebanaaba baagadde okumugombamu obwala .

Agamba nti Police bwerimaliriza okukola okunoonyereza balimutegeeza naakomawo, era wano Besigye waasabidde omulamuzi agobe omusango guno kubanga oludda oluwaabi lulemeddwa okufuna obujulizi obumusundika mu kkooti enkulu.

Wabula ye Omulamuzi Sajjabi ategeezezza nti ye talina buyinza buwozesa musango guno era bwatyo n’awa Besigye amagezi okuteekayo okwemulugunyaakwe mu kkooti enkulu kubanga era yeeyamuwa n’okweyimirirwa.

Omulamuzi omusango ogwongezzaayo okutuusa nga 27 Mukutulansanja.