Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 154 listening Simba FM Live
News

Besigye yayogererawa mukutongoza PFF? – Frank Baine

July 16, 2025 · Mubiru Ali
Omwogezi w’Ekitongole ky’Amakomera ekya Uganda Prisons Service Frank Baine avuddeyo ku katambi k’eddoboozi lya Rtd Col. Dr. Kizza Besigye akazanyibwa mukotongozebwa kw’ekibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) kagamba nti kaali kagatirire.
Bino yabyogeredde ku Makerere University Business School (MUBS) oluvannyuma lwokutendekebwa kwa Bannamawulire.
Baine agamba nti bano bagatta obutambi bwa Besigye ngayogera obukadde wabula ngate babugatta bubi ekyali kiwulirwa omuntu yenna eyayitako mu ssomero. Ono agamba nti eddoboozi eyazannyibwa lyali terikwatagana okuva muntandikwa galikutukakutuka.
Baine ayongerako nti Ekitongole ky’Amakomera kyalindirira okuwulira okwogera kwa Besigye kwebaali basuubizza abantu ku kutongozebwa kwekibiina. Ono agamba nti ekibuuzo ekisinga obukulu kiri nti Besigye yali ayogerera wa?
Wabula Omubaka Ssemujju Ibrahim Nganda akalambira nti Rtd Col. Kizza Besigye munnamaggye omutendeke alina obukodyo bwonna obumusobozesa okubakuba ekimooni nakola kyayagala nga bwazze abatolokoka nawaka nga bamukuuma.
#ffemmwemmweffe