Breaking
News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi. News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 224 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Besigye ne Mukaku bakiriziddwa okweyimirirwa

July 1, 2022 · Mubiru Ali
Kkooti ya Buganda Road enkya yaleero ekirizza Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye wamu ne Samuel Lubega Mukaku okweyimirirwa ku kakalu kaayo buli omu ka bukadde 2 n’ekitundu.
Eyaliko Chief Magistrate wa Kkooti ya Buganda Road Dr. Douglas Singiza yalagidde bano okusasula ensimbi zino nga tebanateebwa okuva mu kkomera e Luzira.
Dr. Singiza eyakakuzibwa okuzzibwa mu KKooti Enkulu agamba nti yadde nga Besigye ne Mukaku babadde baagala bateebwe nga tebalina nsimbi zebasasudde, nti tasobola kuwakanya biragiro byateereddwawo Kkooti Enkulu.
Bbo abeyimiridde Besigye okuli; Deputy Lord Mayor Doreen Nyanjura, Kitigum Municipality MP Dennis Onekalit nabo balagiddwa okuteeka omukono ku kakalu ka Kkooti ak’ensimbi emitwalo 50 ezitali zabuliwo era nabalagira okufuba okulaba nti omusibe adda mu Kkooti okuwulira omusango ogumuvunaanibwa ogwokukuma mu bantu omuliro, olunaku lwonna Kkooti lweba emwetaaze.