Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 225 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Besigye ne Lutale tebalabiseeko mu Kkooti

September 1, 2025 · Mubiru Ali

Olunaku olwaleero Rtd. Col.Dr. Kizza Besigye wamu n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya tebalabiseeko mu maaso g’omulamuzi Emmanuel Baguma wabula baweerezza bbaluwa ereeteddwa ekitongole kya makomera wabula akulira Bannamateeka baabwe Martha Karua ategeezezza nti kino abadde takimanyiiko.
Deputy Director of Public Prosecutions Lino Anguzu ategeezezza nti okuwulira omusango guno tekusobola kugenda mu maaso. Omulamuzi ategeezezza nti omusango gwakuddamu okuwulirwa nga 1-Ocotber.
Ye munaabwe Sgt Dennis Oola abaddewo mu Kkooti.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe