Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 103 listening Simba FM Live
News

Besigye ne Lutale bagaaniddwa okweyimirirwa

April 11, 2025 · Mubiru Ali
Kkooti Enkulu mu Kampala egaanye okusaba okwateekebwayo Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye wamu n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya okwokweyimirirwa netegeeza nti emisango egibavunaanibwa egyokulya mu nsi olukwe gya nnaggomola.
Omulamuzi Rosette Kania ategeezeza nti yadde Besigye ne Lutale bawadde ensonga ezimatiza kwossa n’okuba nti balina amaka mwebabeera agamanyiddwa ssaako nababeyimirira abensa nti wabula ensonga enkulu yabyakwerinda bya Gggwanga wamu n’okukuuma abantu.
Omulamuzi ayongeddeko nti abasibe bombi bamaanyi nnyo nti era basobola bulungi nnyo okutaataganya okunoonyereza kwa Poliisi okugenda mu maaso.
Besigye ne Lutale bali ku alimanda mu kkomera e Luzira okuva nga 16 – November bwebawambibwa abebeyokwerinda okuva mu Riverside Hotel mu Kibuga Nairobi ekya Kenya.
Bano bavunaanibwa n’omusirikale wa UPDF Capt. Dennis Oola nga kigambibwa nti bekobaana naye okugezaako okumammulako Gavumenti nga bayita mu nkiiko zebatuuza mu bibuga okuli; Geneva, Bano bakuzzibwayo mu Kkooti e Nakawa nga 30 April.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe