Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 660 listening Simba FM Live

Besigye azziddwayo e Luzira

May 18, 2016 · Mubiru Ali

Col Dr Kizza Besigye aleeteddwa mu Kooti e Nakawa n’asomerwa omusango gwokulya mu nsi olukwe, azziddwayo e Luzira.

Besigye atuusiddwa ku kooti ssaawa bbiri ezokumakya wakati mu by’okwerinda nga biri gguluggulu bw’atyo n’asomerwa omusango gwokulya mu nsi olukwe Omulamuzi James Eremye wabula agaanye (Besigye) Kanso Shifrah Lukwago okumuwolereza kubanga ye yabadde talina pulogulaamu ya kusisinkana looya yenna mu kooti.

Bwatyo Besigye waakuddizibwa mu kooti nga 01.06. 2016.