Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 263 listening Simba FM Live

Besigye ayolekera bitongole bya nsi yonna okulwanirira eddembe.

April 21, 2016 · Mubiru Ali

Rtd Col Dr Kizza Besigye agamba nti obuufu waakubwolekeza ebitongole byensi yonna  ebirwanirizi byeddembe okutangira Gavumenti okulinnyirira eddembe lya ab’oludda oluvuganya Gavumenti.

Besigye abadde ayogererako ne Bannamawulire mu makage e Kasangati.

Agamba nti bakubye ensonga zaabwe okuziyingizaamu ebitongole ebirwanirizi byeddembe ebyawano naye biremereddwa n’olwekyo bagenda kukkyusa obuufu babutunuulize ebitongole byensi yonna.

Besigye asambazze n’ebyogerwa omwogezi wa Police mu bukiika kkono bwa Yuganda nti bakwatiddwa nga bayingira Rukungiri nga tebafunye lukusa. Agamba (Besigye) nti Rukungiri yeewaabwe gyazaalwa era mutuuze so ate era baabadde bawerekerwako Police.