Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 202 listening Simba FM Live

Besigye ayagala omusango gw’okulya mu nsi olukwe gugobwe

August 12, 2016 · Mubiru Ali

Dr. Kizza Besigye owa FDC asabye omulamuzi akulira kkooti y’e Nakawa James Eremye Mawanda  agobe omusango ogumumuvunaanibwa ogw’okulya mu nsi olukwe kubanga oludda oluwaabi lulemeddwa okufuna obujuluzi obumuluma okusobozesa omusango guno okugenda mu kkooti enkulu .

Besigye okutuuka ku kino kiddiridde oludda oluwaabi okusaba okuwulira omusango kwongerweyo kubanga Police ekyakola okunoonyereza ku nsonga eno .

Col. Besigye alabise nti akooye ebintu bino agamba nti yeewuunya biki Police byenoonyereza ate nga akkiriza nti abadde akyogera lunye nti yawangula akalulu k’obwa Pulezidenti akaaliyo mu Mukutulansanja w’omwaka guno , n’assaawo ne kabineeti era n’asaba wateekebwewo ekingole ekyetongodde okuddamu okubala ebyava mu kalulu .

Wano Besigye waasinzidde okusaba omulamuzi ayimirize omusango guno nga agamba nti Gavumentu yaddembe okuguttukiza ng’efunye obujulizi era n’ategeeza kkooti nti kati n’obudde obuwenjeza amaka ge ekigulira magala eddiba takyabulina olw’okuba mu kooti entakera .

 

Wabula ye  Omuwaabi wa Gavumenti Lino Anguzu awakannyizza okusaba kwa Besigye  ng’agamba nti kooti eno terina buyinza bugoba musango guno okuggyako kooti enkulu .