Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 136 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Besigye avumirira ekya Police okulinnyirira eddembe lye

July 26, 2016 · Mubiru Ali

Col .Dr. Kizza Besigye avumiridde Police olwokulinnyiriranga eddembe lye nga emugombamu obwala entakera gattako okumutangira okukozesa enguudo ezimu nga aliko gy’alaga .

Besigye enkya ya  leero alabiseeko mu kooti okweyanjula ng’atuukiriza ekimu ku biragiro bya kooti ebyamuteekebwako ng’ayimbulwa ku kakalu ka kooti gyebuvuddeko .

Dr .  Besigye agamba nti Police yennyini  yeegenda mu maaso n’okumuggulako emisango gino kyokka bw’atuuka mu kooti negimuggibwako kyokka n’eddamu okumukwata wamu n’okumugaana okukozesa enguudo ezimu .

Okwogera bino abadde yeekuusa ku byabaddewo olunaku lw’eggulo  bweyagombeddwamu obwala ng’ava ku kkoti e Makindye oluvannyuma lwa kooti okugoba emisango egibadde gimuvunaanibwa egy’okujeemera ebiragiro bya Police .

Bw’atyo yeerayiridde nga bw’atagenda kukkiriza Police kugenda mu maaso nakulinnyirira ddembe lye ery’obwebange okutambula n’okunoonyeza abantu be eky’okulya .

Besigye aggyakuddamu okweyanjula eri kooti nga 09  omwezi gwa Mutunda .