Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 672 listening Simba FM Live

Besigye aleetebwa mu Kooti e Nakawa

May 18, 2016 · Mubiru Ali

Omulamuzi James Mawanda mu kooti e Nakawa ayisizza ekiwandiiko ekiragira abakulirwa ekkomera lye Luzira okuleeta Besigye mu kooti leero addemu asomerwe emisango gy’okulya mu nsi olukwe.

Kino kizze oluvannyuma lwa fayilo y’omusango gwa Besigye okujjululwa okuva ewa omulamuzi mu kooti ento e Moroto n’eretebwa e Nakawa oluvannyuma lw’okusaba kw’omuwaabi wa Gavumenti Besigye avunaanibwe gyeyaddiza omusango era bw’atyo Besigye ku bbalaza ya wiiki eno naaleetebwa e Luzira.