Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 779 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Beekalakaasizza lwa nguudo mbi

April 5, 2018 · Mubiru Ali

Abatuuze ku kyalo Gganda  – Nansana ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Wakiso enkya ya leero bakedde kwekumamu gutaaka nebazoba oluguudo oluva e Nansana ku Jenina okudda e Gganda olw’okuba olubi ennyo ddala

Akwekalakaasa kuno kukulembeddwamu Kkansala akiikirira ekitundu kino ku Disitulikiti Twaha Ssekamatte olw’ebinnya ebiyitiridde ennyo nga enkuba bw’etonnya okuluyitamu kuba kulafuubana kwennyini, awo nno kyebavudde bateeka ebiyinja ebinene n’okukuma ebipiira by’emmotoka mu luguudo booleke obulumi bwabwe eri aba Disitulikiti .

Wabula Police y’e Nansana nga ekulemberwamu Tayebwa Mike esitukiddemu ng’eyatega ogw’ekyayi n’egombamu kkansala Ssekamatte olw’okuduumira okwekalakaasa kuno

Abo babadde beerya omuguju nga ne mu kibiga ky’e Mityana entambula esannyalala oluvannyuma lw’abatuuze okuziba oluguudo oluyitibwa Station Road olw’ebinnya ebiruyitiridde era wano Police ewaliriziddwa okukozesa omukka ogubalagala okugumbulula abantu.