Bebe Cool okuteeka famire yamunno ku social media olimba – Kanyomozi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Patrick Kanyomozi avuddeyo nayanukula Bebe Cool ku kya

Bobi Wine okutwala abaana be ebweru; “Bwebakukuba amasasi wamu n’abakuumi bo mu 2010, ku ssente z’omuwi w’omusolo bakutwala ebweru nebakujanjaba nebatwalirako ne Mukyala wo n’abaana bo 2 mu Amerika. Bakusasulira entambula, awokusula, ebyokulya n’ebirala. Waleka abakuumi abaali balumiziddwa ne famire zaabwe mu Yuganda nga tewali ayamba. Kati sirika.
Bebe Cool ng’omuzadde nsuubira omanyi obulabe bwokufulumya ebikwata ku famire y’omuntu ku social media. Obwo obukyayi bususse!
Osobola okubeera obulungi era omusanyufu Bobi weyakuleka, kiriza aluubirira ebisingawo. Bibaawo, ffenna tetusobola kubeera kyekimu.”
Share.

Leave A Reply