Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 321 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Bbeeyi ya Mukene erinnye, kkiro egula 6000

February 27, 2018 · Mubiru Ali

Abatunzi ba mukene basambira nnyuma  nga jjanzi era kati bakuba gudiikudde oluvannyuma lwa bbeeyi ya Mukene okulinnya n'etuuka mu ssiringisi kakaaga (6000) nga amagoba geeyongedde.

Kinajjukirwa nti mu Ntenvu w'omwaka oguwedde ne mu Gatonnya w'omwaka guno, kkiro ya Mukene yali egula enkumi ssatu mu lusanvu naye kati kumpi ekubisiddwamu ebitundu ataano ku kikumi mu butale obw'amaanyi omuli ak'e Nateete, Kaleerwe ne Kisenyi era nga abasinze okukosebwa be balunzi b'ebisolo n'enkoko.

Munnamawulire wa Radio Simba, Joshua Mutale bw'ayogeddeko n'abasuubuzi, bategeezezza nti ebbeeyi ya mukene erinnye lwakuba nti obwetaavu bwe bweyongedde ate nga aggya mutono olw'amazi agakendedde mu nnyanja Nalubaale.