Breaking
News: Wuuno omuvubuka kati Nnaggagga awedde emirimu olwokutandikawo ogumu ku mulimu ogubadde tegukolebwangako mu nsi eno. News: Abawagizi mubakwateko, temubakiriza kuvuga kiddukka kyonna! News: PLU baagala kusirisa opposition bwebalowooza. Balaam beyaleka agobye bameka bebatutte mu Kkooti?!
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 324 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Bbanka Enkulu eyEggwanga evudddeyo nefulumya ekiragiro ekiteekawo ekkomo ku ssente ezirina okugibwayo ku akawunti okuva mu bbanka okutandika 1

June 3, 2026 · Radio Simba

🗳️ Bbanka Enkulu ey’Eggwanga evudddeyo nefulumya ekiragiro ekiteekawo ekkomo ku ssente ezirina okugibwayo ku akawunti okuva mu bbanka okutandika 1 January 2027.
Bbanka egamba nti omuntu aggyayo ssente ku akawunti ye ng’omuntu tajja kusukka nga obukadde 50 buli lunaku nga tasussa bukadde 500 buli wiiki ate akawunti eza Corporate (eza bizineesi) tabajja kusukka nga bukadde 250 buli lunaku nga tebasukka buwumbi 2 mu obukadde 500 buli wiiki.
Bbanka Enkulu ekubiriza abantu okwettanira enkola za digito ezokutambuzaamu ensimbi
Bbanka Enkulu egamba nti wabula mu mbeera ezimu oluvannyuma lwokusaba olukusa nga bayita mu bbanka zaabwe, ba Kkasitoma bayinza okukirizibwa okuggyayo ensimbi ezisukka kwezo ezessalira.

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News