Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 297 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Bbanka engwira teri kwewandiisa wano okuwola Munnayuganda – Prof. Mutebire

October 14, 2020 · Mubiru Ali

Governor wa Bank of Uganda Prof. Emmanuel Mutebire avuddeyo nafulumya ekiwandiiko okutangaaza ku musango wakati wa Kiggundu Hamis owa Ham Enterprises U Ltd ne Diamond Trust Bank Kenya Limited ne Diamond Trust Bank Uganda.
Ekitundu ku kiwandiiko kino kiraga nti bbanka zino engwira eziwola Munnayuganda wabula nga zawandiisibwa bweru waggwanga zigoberera mateeka ga nsi ezo gyezewandiisiza era nga Bbanka Enkulu terondoola mirimu gyazo.
Ayongerako nti ssi kyabuwaze Bbanka engwira okuteekawo omukiise ne offiisi mu Yuganda okusobola okuwola wamu n’okutereka ensimbi.
Bbanka Enkulu evunaanyizibwa kulondoola bitongole byansimbi ebyo byokka ebyewandiisa mu Yuganda okuweebwa layisinsi era ng’obuyinza buno tebukola ku bbanka ziri bweru wa Yuganda nga zawandisibwa mu nsi gyezikolera.
Abaffe kino kitegeeza nti Kkooti obuwanguzi bweyawadde Ham ku DTB tebuliiyo kuba DTB Kenya teyalina kubeera namukiise mu Yuganda okumuwola?