Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 257 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

bbaasi ya Poliisi eyabadde ebuze ezuuliddwa mityana

December 25, 2018 · Mubiru Ali

Bbaasi y’ekitongole kya Poliisi eyayogeddwako nti yabadde ebuziddwawo Ddereeva waayo Cpl/Drv yazuuliddwa ne Ddereeva waayo Geoffrey Mwase nakwatibwa. Bbaasi eno yakwatiddwa emotoka ya Poliisi enawunyi nga bagisanze ku Morgana Petrol Station e Mityana ekiro kyajjo nga egiddwako ennamba.

Kigambibwa nti bbaasi eno yakwatiddwa ku ssaawa ttaano ez’ekiro era nekomezebwawo e Kampala nga ye Ddereeva waayo akuumirwa mu kaduukulu ka Poliisi e Mityana. Mwase yasimbula bbaasi eno okuva mu parking e Namanve nga taweereddwa mulimu gwonna gwegenda kukola.