Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,285 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Bbaasi ya Gateway ekutte omuliro e Kampiringisa

November 9, 2021 · Mubiru Ali
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi avuddeyo ku bbaasi ekutte omuliro; “Tukitegeddeko nti waliwo bbaasi efunye obuzibu, ddereeva nayimirira, abasaabaze nebavaamu wabula ekutte omuliro nebengeya. Tukyanoonyereza oba nga kyekuuse ku bbomu ezibaddewo ensangi zino.”
Bbaasi ya Kkampuni ya Gateway nnamba UAU 926U ettuntu lyaleero ekutte omuliro mu e Kampiringisa mu Disitulikiti y’e Mpigi ku luguudo lwa Kampala – Masaka ng’ebadde eyolekera Kabale. Abasaabaze bonna bavuddemu bulungi nga kigambibwa nti omuliro gutandikidde mu mipiira. Uganda Police Force egamba nti Ddereeva wa bbaasi abadde yategezeddwa ku mukka ogabadde gugivaamu emabega wabula wayimiriridde ng’omuliro gusaasanye.