Breaking
News: Wuuno omuvubuka kati Nnaggagga awedde emirimu olwokutandikawo ogumu ku mulimu ogubadde tegukolebwangako mu nsi eno. News: Abawagizi mubakwateko, temubakiriza kuvuga kiddukka kyonna! News: PLU baagala kusirisa opposition bwebalowooza. Balaam beyaleka agobye bameka bebatutte mu Kkooti?!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 773 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM
News

Bazzukulu ba Nankere abEmmamba Kakoboza basitukidde mu mpaka zEbika byAbaganda mu muzannyo gwomupiira gwebigere, bwe bakubye bazzukulu ba

June 6, 2026 · Radio Simba

⚽ Bazzukulu ba Nankere ab’Emmamba Kakoboza basitukidde mu mpaka z’Ebika by’Abaganda mu muzannyo gw’omupiira gw’ebigere, bwe bakubye bazzukulu ba Mugema ab’Enkima goolo 4-3 mu kakodyo k’okusimula peneti oluvannyuma lw’okugwa amaliri 0-0 mu ddakiika eky’enda.

Guno gwe mulundi ogusookedde ddala mu byafaayo aba Kakoboza okuwangula empaka zino.

Mu gw’okubaka, bazzukulu ba Katongole ab’Ente basitukidde mu ngabo y’omwaka guno.

Bw’abadde akwasa abawanguzi engabo, Katikkiro Charles Peter Mayiga, ayozaayozezza abawanguzi, n’ategeeza nti abazannyi boolesezza omutindo ekitwalirizza omuzannyo okutuuka mu peneti.

Ategeezezza nga obwakabaka bwe bufubye okulaba nga emizannyo gy’Ebika gifuuka gy’amaanyi kubanga Abaganda bangi nnyo.

Ebika 26 bye byetaba mu mizannyo egy’enjawulo mu mpaka z’omwaka guno.

Ekitali kya bulijjo, ku mulundi guno wabaddewo emizannyo mingi egizannyiddwa omuli; Chess, omweso, Scrabble, Ludo, emizannyo gy’abakuze mu myaka n’emirala, era Abantu ab’enjawulo bawangudde emidaali n’ebirabo mu mizanny

Radio Simba News