Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 152 listening Simba FM Live

Bazzeemu okusuula embizzi ku Palamenti

September 15, 2016 · Mubiru Ali

Police ya Palamenti egombyemu obwala abavubuka babiri mu ttuntu lya leero nga ebalanga kusuula obubizzi obusoba mu kkumi okuliraana omulyango gwa Palamenti nga bagamba nti ababaka ba Palamenti basussizza omululu.

Kino wekijjidde nga ababaka mu Palamenti basaba kano na kali omuli ssente z’emmotoka obuwana n’essente z’okukola ku by’okuziika kwabwe .

Obubizzi buno bubadde busiigiddwa amabala aga kyenvu ne bbulu nga butimbiddwako n’amannya ag’abamu ku babaka mu Palamenti omuli; aga amyuka omukubiriza wa Palamenti – Jacob Oulanya, aga omubaka Kafeero Ssekitooleko, omubaka Kato Lubwama, aga akulira oludda oluwabula Gavumeti –  Winnifred Kiiza n’abalala .

Abakwatiddwa be Luta Ferdinand ne Mubiru Joseph nga kakti batemeza mabega wa mitayimbwa .