Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 321 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Bayogera bingi ebikyamu – Zaake

October 23, 2018 · Mubiru Ali

Babaka banange, Bannamateeka, Mikwano gyange, wamu ne Bannayuganda mwenna mbebaza nnyo olwokubeerawo olwaleero.

Nga bwemukimanyi nti obulamu bwange nali mbufiiriddwa olw’ebikolobero ebyantuusibwako mu Arua Municipality nga 13-August-2018. Wayise ebbanga nga byonna ebyantuukako mu Arua mbiwulira ku Radio, mbiraba ku TV, mbisoma mu mawulire.

Agamu mazima so nga ebimu biyiiye era ebiswaza omuntu nga Omukulembeze w’eggwanga okubogera. Kintwalidde ebbanga okubiddamu nga ndaga amazima kuba embeera yange ebadde mbi. Olw’okuba kati mpulira bulungi kambannyonyole ekyaliwo. Eno y’emboozi yange.