Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing Simba FM Live

Bayita mu Isiko nga baagala kunzita

July 8, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka omukyala owa Kabarole mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Hon. Sylvia Rwabwogo avuddeyo nayogera ku nsonga y’omuvubuka Brain Isiko eyasibiddwa emyaka ebiri lwakumukwana. Omubaka agamba nti eky’okumukwana si ky’ekikulu kuba akwaniddwa abantu bangi abasinga ne Isiko obuto n’abo abamusingira ddala obukulu, wabula ono yali akozesebwa abantu abamu abaalina ebigendererwa eby’okumusikiriza nga bayita mu mukwano n’oluvannyuma bamutte.
Agamba nti yayita mu bingi olw’abo abasindika Brian, nabwekityo olw’okutya kwekuddukira ku Poliisi emuyambe.
Nabwekityo asaba abantu baleme kumusalira musango.