Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Bawambye abaana babiri nebasaba obukadde busatu

August 6, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Bweyogerere ekutte emotoka ya Taxi egambibwa okukozesebwa okubbiramu abaana. Kigambibwa nti bano bawambye abaana babiri nebasaba million ssatu (3,000,000/=) okuva mu bazadde baabwe.

Okusinziira ku baana bagamba nti ababawambye babagambye babawerekereko babagulire cake bwebatyo nebababuzaawo. Kitaabwe Hajji Musa Muliika agamba nti abaana bano bawambiddwa nga 5 – Aug – 2018 era natwala omusango ku Poliisi y’e Bweyogerere.

Nakula Muliika Rahma ne Muliika Diin Tajudiin bawambiddwa okuva mu maka g’abazadde baabwe mu zooni y’e Kigandaazi e Bweyogerere. Poliisi egamba nti yatandise okubanoonyeza ku ssimu nga bakubira  abazadde babaweere ssente ku ssimu era nebazuula nti essimu gyebakozesa yabadde Lugazi. Kigambibwa nti bwebakitegedde nti Poliisi ebanoonya nebasalawo okuvaga abaana babazze e Kireka wabula Poliisi nebakwatira mu kubo nga mu Taxi mwebabadde Kigege nnamba UBB 724M.