Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 186 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Batemye ente z’abatuuze

June 29, 2018 · Mubiru Ali

Abantu abatanategerekeka balumbye Division ye Nyakayojo mu district y’e Mbarara nebatematema ente. Kigambibwa nti mu myezi egiyise esatu bakatema ente ezisoba mu 50 ku farm ez’enjawulo. Mu bitundu ebisinze okukosebwa mwemuli Ward y’e Rukindo nga n’ente ezakasembayo okutemebwa ze za Col. Tito Muhinda ku kukyalo Nyakakoni ekiro ekyakeseza olwaleero.

Bano bagenda batema emikira, enkizi oluusi n’embirizi. District Police Commander w’e Mbarara Isaac Kambugu agamba nti Poliisi eyungudde abawanvu n’abampi okunoonya abampembe bano.

Tashobya Karutsya nga ono ye Speaker wa Mbarara Municipality era nga ye Councilor w’ekitundu mukwogerako eri bannamawuliore yagambye wakusoba olukiiko lwa Council okuteekawo amateeka g’ebyokwerinda okulaba nti kino kikoma.