Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 130 listening Simba FM Live
News

Bataddewo ekitongole ekigenda okulwanyisa Abafere mu Bannamakolero

May 26, 2025 · Mubiru Ali
Uganda Manufacturers Association (UMA) ngeri wamu ne @Fraud Database Uganda batandiseewo omukutu ku yintaneeti nga ku mukutu guno kwebagenda okuteekanga abantu bonna Uganda Police Force beeba ekutte mu bufere okuyamba Bannamakolero obutagwa mu katego ka bafere.
Mu lukiiko lwa Bannamawulire ku UMA show ground Lugogo, Ssentebe wa UMA Aga Ssekalala Jr. ategeezezza nti Abasuubuzi bangi wamu n’amakampuni bafereddwa Abafere abagufuula omulimu nga batambula kkampuni ku kkampuni nga bafera abantu olwokuba nti tewali avaayo kubaanika.
Ssekalaala ayongeddeko nti nga bayambibwako Poliisi wamu nensala za Kkooti, Abafere bano bakuteekebwa ku mutimbagano ggwa Fraud Database Uganda abantu kwebasobola okugenda nebakebera nga tebanakola kusalawo kukolagana nabantu abenjawulo.
Kateeba Joseline nga ye Ssentebe wa bboodi ya Fruad Data Board Uganda agamba nti amakampuni wamu n’abasuubuzi abanayagala okweyambisa omukutu guno alina okwewandiisa ne UMA. Fraud Database Uganda yakutongozibwa nga 30 May 2025.
Bya Dick Nvule Nsubuga
#ffemmwemmweffe