Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Basatu basindikiddwa ku alimanda lwakukwata katambi kabuseegu

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road ow’eddaala erisooka Marion Mangeni olunaku lw’eggulo yasindise abantu basatu ku alimanda mu kkomera e Kigo ne Kitalya okutuusa nga June 18 – 2020.
Bano kuliko abafumbo babiri okuli Hamis Mukota ne Mukyala we Donah Werukwendera wamu ne Tracy Naŋŋendo nga kigambibwa nti bano bayingira mu nnyumba y’omusuubuzi omu e Iganga nebamukwata ku katambi bweyali yegadanga ne Tracy Naŋŋendo (mu T-shirt enjeru) oluvannyuma nebatandika okumutiisatiisa nti bagenda kufulumya akatambi singa tabawa bukadde 150.
Bano omusango bagwegaanye era nebasaba okweyimirirwa nga baleese abeŋŋanda zaabwe okubeyimirira wabula Omuwaabi wa Gavumenti Ivan Kyazze nasaba Kkooti emuweeyo obudde okwetegereza ebibakwatako.
Kigambibwa nti bano mukugezaako okubuzaabuza omusango bawaaba omusango gw’okukaka omukwano ku Poliisi wabula abakugu oluvannyuma lw’okwekeneenya katambi kino bakisambajja.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort