Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Basatu bakwatiddwa n’emmundu e Mbarara

September 5, 2018 · Mubiru Ali
Abaaliko abakozi ba kkampuni y’obwannanyini enkuumi eya Security Plus bakwatiddwa kubigambibwa nti babadde n’emmundu mu bumenyi bw’amatteka wamu n’okwenyigira mu bubbi.
Owomugisha Proto, Mwesiga Gordon ne Muhindo Moris bakuumirwa ku Poliisi y’e Mbarara, Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ky’e Rwizi Samson Kasasira akakasiza kino nagamba nti basangididdwa n’ebintu ebibbe okwabadde n’emmundu nnamba UG PSO 320088405981 eyabibwa ku mukkumi wa kkampuni ya Tiger Security Marvin Aijjuka nga naye akuumirwa ku Poliisi y’e Isingiro nga kirowoozebwa nti yandiba nga yakolagana nabano okubba emmundu,
Kigambibwa nti emmundu y’emu yandiba yeyakozesebwa okutta omuntu e Kikagate week ewedde. Mu byebasangiddwa nabyo kwabaddeko Soalr battery, Flat Screen TV 16′, hoofers, essimu ya Itel ebaririrwamu akakadde kamu nga kirowoozebwa bino babibba ku Rosette Kuhaabwa omusuubuzi w’e Mitoojo, Kashare mu District ye Mbarara nga 30 – August.