Breaking
News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 403 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Basatu bafiiridde mu kabenje ka Bodaboda

January 23, 2018 · Mubiru Ali

Abantu basatu bafiiriddewo mbulaga mu kabenje ka Bodaboda ku luguudo olugenda ku bizinga by'e Bunjakko mu Disitulikiti y'e Mpigi. Bodaboda bbiri nga buli emu abadde etisse abasaabaze babiri zitomereganye.

Abafiiridde mu kakbenje kano kubaddeko Martin Kyambadde myaka 23, Mwanje Godfrey abadde mugoba wa Bodaboda mu kabuga k'e Buwama so ate omulala afudde abadde tannategeerekeka mannya. 

Okusinziira ku beerabiddeko n'agaabwe ku kabenje kano,  bategeezezza Luboggola Simba nti kavudde ku mmotoka ebadde eyitawo nga efuumuula enfuufu ey'amaanyi mu kiseera kino Pikipiki wezibadde ziyisinganyiza olwo nezaambalagana bukanzu 

Emirambo gy'abagenzi gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Gombe. Kitalo !!