Breaking
News: Tulina kyetuyita okugwa mu bintu, Bika ki ebya Buganda ebyali bigudde mu bintu ku bwa Katikkiro? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya akaseerezi kafuuse akaseerezi atubira aba atumidde ne leero lindirira envuuma zabakontanyi News: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Ggwanga ekya National Drug Authority NDA kyakutte abantu 2 abagambibwa nti babadde bajjingirira wamu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 264 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Bano 5 mubayimbule tebalina musango – Ttabula

October 3, 2024 · Mubiru Ali

Abantu 5 abakwatibwa ku byekuusa ku kutemula eyali omukulu w’Ekika ky’Endiga Eng. Daniel Bbosa Kakeedo bavuddeyo nebasaba omulamuzi wa Kkooti ya Mwanga II okubayimbula kuba agambibwa okutegeka olukwe luno lwonna yakwatibwa era nakiriza nti yeyali omutwe omukulu mu kino. Bano bagamba nti bbo tebalina musango nti era tekiba kyabwenkanya okubakuumira mu kkomera sso nga balina famire ento ezokulabirira.

Okusaba kwabwe kuwagiddwa Luggya Tabula ategeezezza omulamuzi w’eddaala erisooka Adams Byarugaba nti yadde 5 bano ba luganda lwe naye tebalina musango okuleka kizibwe we Luggya gwagamba nti gweyasindika okutta Eng. Kakeedo.

Omulamuzi wabula bano abategeezezza nti Kkooti ye terina buyinza buwulira musango guno nti era Kkooti Enkulu yerina okusalawo oba nga bano balina omusango oba nedda nga bano bakusindikibwayo nga 24-October. Baziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira.

Bya Chrisitina Nabatanzi

#ffemmwemmweffe