Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 204 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Bannyuganda mubeere bagumu mulina Ababaka abategeera – Hon. Bwanika

May 22, 2022 · Mubiru Ali
Omubaka Akiikirira Kimaanya Kabonera Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Abed Bwanika avuddeyo nagumya Bannayuganda abayita mukunyigirizibwa olw’enteekateeka za Gavumenti zagamba nti zireetebwa mu ngeri ey’ekimpatiira obutaggwamu ssuubi kubanga mu Babaka ba Palamenti mulimu abakyalina ensa nga balina n’obwongo obwoogi obusobola okuteeka akazito ku Gavumenti singa wabeerawo ekireetebwa okunyigiriza Bannansi.
Bwanika anajjukirwa nnyo olw’engeri gyeyabagulizaako Babaka banne ng’agudde ku ndagaano y’emmwanyi eyali yakolebwa mungeri ya mankwetu. Abed Bwanika asabye Babaka banne bwebali ku ludda oluvuganya okwongera okuleeta ensonga ezessimba ezibbulula Bannayuganda kuva mukunyigirizibwa.