Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 1,461 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Bannayuganda mu UAE basula ku nguudo – Hon. Nkunyigi

August 18, 2022 · Mubiru Ali
Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform era Minisita ow’ekisiikirize avunaanyizibwa ku nsonga zebweru w’eggwanga akiikirira Kyaddondo East Nkunyingi Muwada; “Ekiro kyolwokusatu nakimaliddeko ku nguudo ne Bannayuganda abasirinira mu UAE. Nabaddeko ku Baniyas Square ne Union Metro Station e Deira, Bannayuganda naddala abavubuka ngabasinga bawala n’abakyala n’abasajja abatono bebasula ku nguudo.
Bangi bagamba nti baferebwa Kkampuni ezabalimba okubawa emirimu ezabasuula ku nguudo nga batuuse eno so nga ne visa zebabafunira ziggwako nga tebanafuna mirimu.
Ekitebe kya Yuganda kigamba nti tekirina nsimbi zimala okununulanga nga Bannayuganda entakera.
Bangi babawambako ppaasippooti zaabwe nga nensimbi zebalina okusasula okufuna endala tebazirina.
Bangi ku bano baagala buyambi kudda kwaboobwe. Waliwo omukyala ow’enjawulo gwenasanze ku Union Metro Station nga atudde ku katebe mu matumbi ngo agamba nti ekimusuza ngatunula kwekukuuma Bannayuganda banne ababa bebase mu kiro olwe ye neyebaka emisana. Tujja kugezaako okukola ekisoboka wabula ffenna twetaaga okukwatira awamu.”