Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 99 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Bannayuganda bali mu kiyongobero kya Hon. Birekeraawo

December 19, 2016 · Mubiru Ali

Bannayuganda naddala ab’ekibiina kya Democratic Party bali mu kiyongobero olw’okufa kwa abadde Ssaabawandiisi w’ekibiina, Mathias Nsubuga Birekeraawo.

Birekeraawo yafuna ekirwadde kyokusannyalala ekyamutuusa okutwalibwa mu ddwaliro lya Case Clinic nga biwala ttaka gyeyafiiridde akawungeezi akayise. Ekirwadde kino okuva lwekyamukwata ku nkomerero ya ssabbiiti ewedde abadde taddangamu kuteererera ddala wadde n’akatono.

Mathias Nsubuga yaliko omubaka mu Palamenti ng’ akiikirira ekitundu ekyobukiika ddyo obwa Bukoto ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Lwengo.

Ajjukirwa mu kuteekateeka olukungaana olukyasembyeyo olwa Ttabamiruka w’ekibiina kya DP olwatuula mu Katomi Kingdom Resort ekiri ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ntebe nga luno lwaliyo mwaka guwedde 2015.

Abamu ku babaka  aboogedde ku nfa ya Hon. Birekeraawo omuli, Hon Florence Namayanja bagamba nti bakubiddwa enkyukwe yamaanyi ate ye Minisita Frank Tumwebaze agamba nti Birekeraawo abadde musajja ayagala ennyo okuteesa. Kitalo! Tuli baakukuwa byonna ebinaddirira.