Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 441 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Bannayuganda bakyeyiwa e Namboole ku kayiso ka YELLOW FEVER

December 6, 2017 · Mubiru Ali

Weruyingiridde olunaku olwokutaano nga nnamungi w'omuntu yeyongera okweyiwa mu kisaawe e Namboole basobole okugemebwa ''YELLOW FEVER'' era nga enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ekitogole ekivunaanyizibwa ku kutereka eddagala mu ggwanga ekya National Medical Stores (NMS) .

Enteekateeka eno ey'okugema  eyatandika mu mwezi gwa Museenene nga 28 egendererwamu okuyamba Bannayuganda abasoba mu mitwalo etaano ( 50.000) abo abatalina busobozi busasula mitwalo kkumi (100.000) ku malwaliro ga City Council ate n'amalala ag'obwannannyini 

Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde Minisitule evunaanyizibwa ku by'obulamu yazuula omusujja guno (Yellow Fever )  mu Disitulikiti omuli Masaka,  Bukomansimbi , Rukungiri n'endala .