Bannayuganda bakedde kweyiwa mu bifo awalonderwa kusuula kalulu, awamu ebirondesebwa tebinnatuuka.

IMG_20160218_153003

Bannayuganda mu ggwanga wanna bakedde kweyiwa mu bifo awalonderwa okulonda abakulembeze baabwe okuva ku Pulezidenti, omubaka wa palamenti n’omubaka omukyala akiikirira disitulikiti.

Mu bitundu ebisinga eby’ebyalo obululu bwatuuse mu budde ate mu bitundu bya Kampala ne Wakiso ebikozesebwa bituuse kikeerezi ddala kumpi kuyingira mu ssaawa musanvu ogwemisana ate mu bifo awalala basiibye bakonkomadde era tebasobodde kulonda nga mu Kawempe, mu kifo ekimanyiddwa nga Kakungulu.

IMG_20160218_153003

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.