Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing Simba FM Live

Bannayuganda bajja kwejusa singa basindikiriza Museveni okuvaako – Nadduli

July 9, 2018 · Mubiru Ali

Minisita owaguno naguli Alhajji Abdul Nadduli agamba nti President Yoweri Kaguta Museveni wakuva kubukulembeze nga yesiimidde so ssi lwa pokopoko wab’oludda oluvuganya Gavumenti. Ayongedde nakikaatiriza nti President Museveni asobola okuva ku bukulembeze nga yesaliddewo so ssi kumala kumusindikiriza.

Ayongedde nagamba nti Bannayuganda bajja kwejusa nnyo singa basindikiriza Pulezidenti Museveni okuva ku bukulembeze. Nti era takisuubira nti kinabaawo kuba Bannayuganda tebasobola kukiriza kufiirwa mukulembeze alina vision ate nga kyakulabirako ky’amaanyi nnyo.