Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 338 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Bannayuganda babiri bawangudde engule z’okukuuma eddembe eza European Union

May 24, 2018 · Mubiru Ali

European Union esiimye Bannayuganda babiri olw’emirimu gyebakoze okukomya okukusa abaana wamu ne n’okulwanyisa land mines. Engule ezatuumiddwa  2018 Human Rights Defenders Award zawanguddwa Margaret Arach Orech, eyatandikawo ekibiina kya Uganda Landmine Survivors’ Association ne Peter Sewakiryanga, eyatandikawo Kyampisi Childcare Ministries, ekibiina ekiyamba abaana abasimattuka okusadaakibwa.

Ambassador wa Belgium mu Uganda, Hugo Verbist yagambye nti okusiima kuno gyegimu ku nkola European Union zeeyiseemu okutumbula emirimu gy’ekibiina kino. Arach, yakubwa land mine eyamutemako okugulu mubulumbaganyi bwa bayekera aba Lord’s Resistance Army (LRA) mu 1998, akozesa ekibiina kye kino okunooya obuyambi eri abantu abasimattuka land mines n’abo abaliko obulemu.

Sewakiryanga, Omusumba alabirira abaana abasoba mu 80 nga basimattuka okusaddaakibwa. Mu 2017, Ssewakiryanga yagenda e Oman okutaasa abaana 6 abaali bakukusiddwa.