Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,363 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Bannamawulire babasomesa ‘ethics’? – IGG Beti Kamya

February 12, 2025 · Mubiru Ali

Kaliisoliiso wa Gavumenti Beti Kamya Turwomwe avuddeyo; “Wiiki ewedde ku Bbalaza nagenda ku Media Center okujjukiza abakozi ba Gavumenti akawaayiro ka Ssemateeka nti balina okwanjula ebyobugagga byabwe omwezi ogujja. Munnamawulire omu nambuuza kiki kyenkozeewo ku Sipiika.
Ebyobugagga Anita Among byebagamba byalina e London, namuzeemu nti ekisooka Munnayuganda yenna waddembe okubeera n’ebyobugagga e London oba mu Nsi endala kasita abeera nga abifunye mu makubo matuufu era okuva mu nsimbi zasobola okunnyonyolera obulungi.
Kifuuka musango singa tabyanjulira IGG. Ennyumba gyebagamba teri mu mannya ga Sipiika yawandiisibwa wansi wa PLACES FOR PEOPLE’S HOME LTD. Wabula ku ntegeera ya Munnamawulire oyo yalowooza nti olwo IGG yejjeerezza Sipiika.”
#ffemmwemmweffe