Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 280 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Bannamawulire abagenze okubaja Gen. Saleh ezokukolera NRM kibaweddeko

January 9, 2021 · Mubiru Ali
Gen. Salim Saleh olunaku olwaleero asituse nava mu lukiiko lwa Bannamawulire ababadde bataamye obugo e Gulu. Bano bagamba nti bakola amawulire agawagira National Resistance Movement – NRM nti era babadde bagala basasulwe.
Bannamawulire 28 abegattira mu Entertainment News Reporters Association bavudde e Kampala ne bagenda e Gulu nga baagala basasulwe olw’omulimu gwebakoze okukuiira NRM ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akadingidi nga twolekera akalulu ka 2021.
Bano nga bayita mu mwogezi waabwe Ronald Twehoyo atayogedde muwendo gwa ssente zebabadde basaba, abavubuka bano babadde baagala baliyirirwe ensimbi zebakozesezza okusaasaanya amawulire amalungi ku bikoleddwa Gavumenti ya NRM. Gen. Sale abawadde amagezi bafuukire ddala ba agenti ba NRM kuba bavudde mu mulimu gw’okusaka amawulire nebadda mu byobufuzi.
Abasabye bakole invoice wamu n’obukakafu bwabyebakola babiweeyo balabe oba babasasula nti era okukyala kwabwe kubadde tekwetaagisa nabalekera IT manager we ategeerekeseeko erya Deo abakwasaganye. Bano basigadde bemaggaza mu nkambi yamaggye ey’ekibinja ekyokuna era nga balabiddwa nga boogera n’omwogezi w’eegye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF (Updf Spokesperson) Brig Gen Flavia Byekwaso abasabye okubeera abagominkiriza omukulu bamuwe obudde.