Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 217 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Bannamawulire 2 basindikiddwa e Luzira lwakuwandiika mawulire nga tebalina layisinsi ya UCC

June 21, 2024 · Mubiru Ali
Bannamawulire 2 basimbiddwa mu Kkooti olunaku olwaleero nebasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwakuddukanya mikutu gy’amawulire ku mutimbagano nga tebalina layisinsi ekola omulimu guno okuva mu Uganda Communications Commission.
Dickson Mubiru Ashely; Managing Director wa Grace Publications ne Ssengooba Alirabaki; nga muwandiisi mu Grape Vine Media bebasindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira. Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road abasomedde emisango 2 olwokufulumya eggulire nga tebalina layisinsi ekikontana nakawayiro 27 of UCC Act of 2013.
Kigambibwa nti bano bombi nga 13 June ne 15 June 2024, bafulumye amawulire wansi w’emitwe; ‘How top legislators shared $5M Vital oil deal bribe and ” Lawyer Kabali -Justice Nkooke Clash over court case file” nga tebalina layisinsi.
Mu musango ogumu, Munnamateeka Steven Kabali abadde avuddeyo okuwa obujulizi ku Bannamawulire bano wabula omuwaabi wa Gavumenti Ivan Kyazze nategeeza nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Bano emisango bagyegaanye mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi so nga ne Munnamateeka waabwe Kibazo Nasser abadde teyetegese kubasabira kweyimirirwa.