Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 712 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Bannamateeka ba Kanyamunyu bamwabulidde

November 6, 2020 · Mubiru Ali

Bannamateeka abasatu abawolereza Mathew Kanyamunyu ne muganzi we Cynthia Munwangari babesambye wakati mu kuwulira omusango.
Kanyamunyu ne Cynthia bategeezezza omulamuzi Steven Mubiru nti okuva omusango lwegwayimirira enaku 10 eziyise, Bannamateeka baabwe okuli; Caleb Alaka, Evans Ochienge ne Macdusman Kabega tebabasisinkanangako wadde okukwata essimu zaabwe.
Wabula oludda oluwaabi lubadde luleese abajulizi 2 okulumiriza Kanyamunyu ne Cynthia ku kutibwa kwa Kenneth Akena.
Omulamuzi Mubiru agambye nti tewakyali budde nabategeeza nti bakozese weekend eno okufuna Bannamateeka baabwe oba okfa abalala oba bategeeze Registrar wa Kkooti Gavumenti ebawe Munnamateeka.
Okuwulira omusango guno kuddamu nga 9-November-2020.