BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Bannamateeka ba Besigye beecwacwanye lwa Besigye butaleetebwa mu Kooti

Bannamateeka ba Dr. Kizza Besigye beecwacwanye olw’abakulira ekkomera  lye Luzira okugaana okuleeta omuntu waabwe mu kooti olwaleero ate n’ekyokusaba kwa Gavumenti omusango gwa Besigye gukyusibwe okuzzibwa mu kooti ento e Luzira .

Besigye abadde asuubirwa okulabikako leero mu maaso g’omulamuzi wa ento  Nakawa James Eremye  naye omuwaabi wa Gavumenti Lino Anguzu n’ategeeza kooti nti beekengedde obyokwerinda Besigye kyavudde taleetebwa .

Ayongeddeko (Omuwaabi wa Gavumenti) nti Besigye yakyusibwa okuggyibwa e Moroto nga beeraliikirira ku by ‘okwerinda bye nga kyekimu neekibaddewo olwaleero . Asabye kooti Besigye akomezeebweo olunaku olulala lwonna oba omusango guwulirizibwe mu kooti ento e Luzira .

Bw’atyo omulamuzi Eremye akkiriziganyizizza n’ekyoludda oluwaabi era n’alagira akomezebwewo(Besigye) nga 15 . 06 . 2016 . asalewo ku ky’okuwuliririza omusango e Nakawa oba e Luzira  .

Wabula kino kiggye abawagizi ba FDC n’abantu abalala  ababadde bagumbye mu kooti okukuba olube wamu n’okungoola omulamuzi nga kw’otadde n’okumuyita Kifeesi  .  Okuleekana kuno kulemesezza  okuwulira emisango emirala mu kooti eno ekiwalirizza omulamuzi ono okwamuka kooti eno .

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply