Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 292 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

bannakibiina kya uganda federal alliance bagobye beti kamya

March 16, 2019 · Mubiru Ali

Aba Uganda Federal Alliance bakkaanyiza nga nkuyege ne baggya obwesige mu Minisita Beti Olive Namisango Kamya era ne bamufuumuula ne mu kibiina .
Beti Kamya eyatandikawo e kibiina kino mu mwaka gwa 2009 agobedwa nga bgamba nti asusse okulya mu kibiina olukwe saako n’okubeera n’ebigendererwa ebikontana n’ebyo eby’ekibiina bwe yeegatta ku kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM mu mwaka gwa 2016.
Amawulire g’okugobwa kwa Kamya gaguddewo ng’ali mu lusirika lw’akabondo ka NRM olw’ababaka ba Palamenti oluyindira e Kyankwanzi .
Baker Byayi Ssenyonga ng’ono ye mwogezi w’ekibiina ategeezezza nti Beti Kamya bamuwadde ebbanga ddene okukomawo yeetondere ekibiina kyokka alabika nga alemereddwa.