Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 728 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM
News

Bannakibiina kya NUP abakwatiddwa enkya yaleero basindikiddwa Luzira

July 22, 2024 · Mubiru Ali

Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo ku banaabwe abakwatiddwa olwaleero okuva mu Kitebe; “Zibadde zigenderera okuwera ssaawa emu eyekiro, banaffe abakwatiddwa okuva ku kitebe kya NUP basimbiddwa mu Kkooti ya LDC nebasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira.
Tugezezzaako okubeyimirira wabula Kkooti netegeeza nti babadde betaaga obudde obumala okwanukula. MP Zaake Francis Butebi avunaaniddwa omusango gwokumenya amateeka g’ebidduka ate abalala nebavunaanibwa okukuba olukungaana olutali mu mateeka. Abalala kuliko; Hon. Kirumira Hassan, Hon. Tebandeke Charles, Comrades Mubiru James, Mukasa Ben Ntale, Kemigisha Sharon, Mungu Brian, Ssemanda Ibra ne Nabakooza Shamim.”