Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 201 listening Simba FM Live
News

Bannakibiina kya NUP abakwatiddwa e Kamuli basindikiddwa ku alimanda

May 24, 2024 · Mubiru Ali
Bannakibiina kya National Unity Platform 13 abakwatiddwa olunaku lweggulo e Kamuli, olunaku olwaleero basinbiddwa mu Kkooti nebavunaanibwa emisango 2 okuli; okukuma omuliro mu bantu wamu n’okunyomoola ebiragiro ebiri mu mateeka.
Munnamateeka waabwe Hon. Shamim Malende ategeezezza nti bataddemu okusaba kwabwe okwokweyimirirwa wabila omuwaabi wa Gavumenti nategeeza nti akyetaaga obudde okwetegereza abavuddeyo okubeyimirira. Bano bakudda mu Kkooti nga 27/5/2024.
Bano kuliko; Sarah Mukisa Muwonge, James Mukama, Peter Kissa, Ivan Wamende, Ngobi Emmanuel, Malagala Jacob, Rahma Juma, Ssengendo Shafik( Shafi Adams), Amanya Holliness Collins, Sempijja Vicent, Wasswa Paddy, Julius Balubinze ne Wayibi Rashid (BOBI Rash).