Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 1,018 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Bannakibiina kya NUP 4 ku 32 bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

April 3, 2023 · Mubiru Ali

Kkooti y’eggye lya UPDF etuula e Makindye olunaku olwaleero eyimbudde Bannakibiina kya NUP abakwatibwa e Kalangala 4 ku 32 abasigalayo nga bano bavunaanibwa omusango gwokusangibwa n’ebintu by’amaggye.

Abayimbuddwa kuliko; Ronald Mayiga, Richard Nyombi, Shafic Ngobi ne Kenneth Kamya. Okusinziira ku Ssentebe wa Kkooti eno Brig. General Freeman Mugabe, agamba nti bano 4 baleese ababeyimirira nga balina ebisaanyizo so nga abalala 28 ababeyimirira bebaleese babaddeko akabuuza.

Brig. Mugabe alagidde abasibe bano 4 buli omu okusasula emitwalo 50 nga tebanayimbulwa ku kakalu ka Kkooti. Ono era alagidde ababeyimiridde buli omu okuteeka omukono ku Kakalu akatali ka buliwo ka bukadde 2 buli omu. Bano baweereddwa akakwakulizo kobutafuluma Disitulikiti okuli Kampala ne Wakiso nga tebafunye lukusa lwa Kkooti. Kkooti era ebategeezezza nti singa banamenya obukwakulizzo buno tejja kulonzalonza kusazaamu kakalu kano.

Abalala 28 baziddwayo e Luzira ku alimanda wabula nga bakuzzibwa mu Kkooti enkya okuwulira emisango egibavunaanibwa nga Bannamawulire wamu n’abantu baabwe mwebatagenda kubeera nga batya okulaba ababalumiriza kuba bayinza okubatuusaako obulabe.