Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 86 listening Simba FM Live
News

Bannakibiina kya NUP 13 bakwatiddwa lwakubba ssimu ebalirirwamu emitalo 10

May 9, 2025 · Mubiru Ali
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nti kati Gavumenti esazeewo kukozesa musango gwabubbi okumalira abawagizi be mu makomera. Ategeezezza nti waliwo abakwatiddwa 13 nga bano babadde ku mupiira ogwabadde gutegekeddwa abakulembeze ba NUP e Masaka, bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi nebavunaanibwa okubba essimu ekika kya Tecno C25 ebalirirwamu emitwalo 10, ne ssente enkalu emitwalo 10 okuva ku Kisame David nga 4 May 2025.
Kigambibwa nti bano era bakuba nebalumya abasirikale ba Uganda Police Force okuli omukyala nnamba 61913 PC Inebe Lakeri n’omulala nnamba 43920 D/CPL Mulema Davis.
#ffemmwemmweffe