Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 625 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Bannakibiina kya NRM basussa amalala – Peter Ssekungu

February 7, 2021 · Mubiru Ali

Sentebe wa National Resistance Movement – NRM owa Disitulikiti y’e Masaka Ssenkungu Peter alumirizza ekibiina kye nga kyo kyennyini bwekyaviirako okukola kwakyo obubi mu Buganda nebitundu ebirala nagamba nti balekerawo okwekwasa ebibiina ebirala ebibavuganya.
Ssenkungu okwogera bino asinzidde mu lukiiko lwa Bannakibiina abakwatira NRM bendera kyokka nebatawangula olubadde ku Royal Gardens mu kibuga Masaka.
Ssenkungu yategeezezza nga Bannakibiina abamu bwe balina amalala mangi ate nga nabalala bafuuka banantabulirirwa kwogatta n’ensonga y’okunyaga ettaka ly’abantu mu Buganda.
Ye Minisita Kiwanda Godfrey Ssuubi ye agambye nti olukiiko lwagendeddwamu okuddamu okukumakuma Bannakibiina baleme kuterebuka era nagamba nti bazeemu buto okutandiika okusaggula mu Buganda bagende okutuuka mu mwaka 2026 nga NRM yeddiza ebifo byonna aboludda oluvuganya byebabatuteko.
Kyoka naye akirizza nti waliwo ensombi nyingi nyo ezakolebwa nga ku nsonga eno betaaga okuddamu nebatuula nebetereeza.