Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 1,279 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Bannakibiina kya NRM bakyalidde Katikkiro

September 23, 2020 · Mubiru Ali

Minisita Godfrey Kiwanda Ssuubi, Hon. Ruth Nankabirwa, Hon. Margaret Nantongo Zziwa bakyaddeko embuga nebasisinkana Katikkiro
Ensonga ebaleese kwekweyanjula embuga ku bukulembeze bwebaakatuukako obuggya wamu ne byebateeseteese okukolera Bannayuganda nga bayita mu kibiina kyabwe.
Akulembeddemu ekibinja kino Hon. Godfrey Kiwanda Ssuubi agambye nti mu Buganda mwebakolera emirimu gyabwe era n’olutalo olwaleeta NRM mu buyinza lwali mu Buganda n’olwekyo balina obuvunaanyizibwa okulaba nga banyweza enkolagana ne Gavumenti ya Kabaka.
Katikkiro abasabye okumanya ensonga Ssemasonga ettaano Buganda kwetambulira olwo kijja kubanguyira okutambuza obulungi emirimu gyabwe.
Ku nsonga yebyobufuzi, Katikkiro agambye nti Olw’okuba NRM bebali mu buyinza, balina obuvunaanyizibwa eri abagizi baabwe ne bannayuganda okulaba nga okulonda mu kamyufu n’okwa Uganda yonna kuba kwa mirembe.
Mu ngeri yeemu Katikkiro alaze ekivaako obusambattuko mu kulonda mu bibiina ne mu Uganda yonna, okuli; abalonzi obutaba na bwesige mu balondesa, embeera yonna tebagirabamu mazima na bwenkanya, eyesimbyewo okugaba ssente emisana nga tewali amugambako, ababala obululu okulaga kyekuubira awatali kwanaanya.
Ayongeddeko nti ekyobugagga NRM kyesaana okulekera Uganda kwekulaba nga okulonda mu bibiina munda ne mu kulonda okwa Uganda yonna kubeera kwa mazima na bwenkanya.