Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 207 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Bannakenya mutosonyiwe – Pulezidenti Museveni

October 5, 2022 · Mubiru Ali
Omuduumizi w’eggye lya UPDF owokuntikko Gen. Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo neyetondera Bannakenya ku bintu mutabani we Gen. Muhoozi Kainerugaba bweyawandiise.
Pulezidenti Museveni; “Nsaba baganda bange Bannakenya okutusonyiwa olwa tweet azawandiikiddwa Gen. Muhoozi abadde omubuumizi w’eggye eryokuttaka.”
Ayongeddeko nti si kirungi bakozi ba Gavumenti kababeere Bamaggye kwongera oba okweyingiza mu nsonga z’ensi endala. Ku nsonga lwaki yamukuzizza okumutuusa ku ddaala lya General nga wadde yabadde akoze ensobi agambye nti byeyawandiise yabadde nsobi emu etenkanakana nabirungi General Muhoozi byakoze oba byasobola okukola.
Pulezidenti Museveni era yetondedde Bannayuganda abayinza okuba nga banyiize olwebyo Gen. Muhoozi byawandiise.